Ezekiel 30:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, mmenye omukono gwa Faraawo kabaka w'e Misiri, tegusibiddwa kiwero guwone yadde okusibibwa akannyo guddemu amaanyi gusobole okukwata ekitala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era laba tegusibiddwa okusiigako eddagala, n’okugussaako ekiwero okugusiba, guleme okufuna amaanyi okukwata ekitala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana w'omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo kabaka w'e Misiri; era, laba, tegusibiddwa okusiigako eddagala, n'okugusaako ekiwero okugusiba, gubeere n'amaanyi okukwata ekitala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, mmenye omukono gwa Kabaka wa Misiri. Tegusibiddwako ddagala wadde okuyungibwa gusobole okuwona n'okuba ogw'amaanyi, okuddamu okukwata ekitala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo kabaka w'e Miisiri; era, laba, tegusibiddwa okusiigako eddagala, okussaako ekiwero okugusiba, gubeere n'amaanyi okukwata ekitala.