Ezekiel 30:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Faraawo kabaka w'e Misiri mmuli bukiika. Emikono gye gyombi nzija kugimenya, omukono omulamu n'omukono ogwamenyeka, mmusuuze ekitala mu mukono gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnina ensonga ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era ndimenya emikono gye, omulamu ogw’amaanyi n’ogwo ogwamenyekako, ne nsuula ekitala okuva mu mukono gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndi mulabe wa Falaawo kabaka w'e Misiri, era ndimenya emikono gye, ogw'amaanyi n'ogwo ogwamenyeka; era ndisuula ekitala okuva mu mukono gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Nze Mukama Afugabyonna, ŋŋamba nti ndi mulabe wa Kabaka wa Misiri, era ndimenya emikono gye gyombi, ogw'amaanyi n'ogwo ogwamenyeka, mmusuuze ekitala ky'akutte.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti laba, ndi mulabe wa Falaawo kabaka w'e Misiri, era ndimenya emikono gye, ogw'amaanyi n'ogwo ogwamenyeka; era ndigwisa ekitala okuva mu mukono gwe.