Ezekiel 30:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukono gwa kabaka w'e Babiloni nzija kugufuula gwa maanyi, mmenyeemenye emikono gya Faraawo, alisindira mu maaso ge ng'afumitiddwa obubi bw'asinda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni ne nteeka ekitala mu mukono gwe, naye ndimenya emikono gya Falaawo, era alisindira mu maaso ga kabaka w’e Babulooni, ng’omuntu afumitiddwa anaatera okufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndinyweza emikono gya kabaka w'e Babbulooni, ne nteeka ekitala kyange mu mukono gwe: naye ndimenya emikono gya Falaawo, kale alisindira mu maaso ge ng'omuntu afumitiddwa agenda okufa bw'asinda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era ndinyweza emikono gya kabaka wa Babilooniya, ne nteeka ekitala kyange mu mukono gwe. Kyokka ndimenya emikono gya kabaka wa Misiri, asindire mu maaso ga kabaka wa Babilooniya, ng'omuntu afumitiddwa ebiwundu eby'okumutta bw'asinda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndinyweza emikono gya kabaka w'e Babulooni, ne nteeka ekitala kyange mu mukono gwe: naye ndimenya emikono gya Falaawo, kale alisindira mu maaso ge ng'omuntu afumitiddwa okufa bw'asinda.