Ezekiel 30:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kussa amaanyi mu mikono gya kabaka w'e Babiloni, naye emikono gya kabaka w'e Misiri gijja kulagaya. Bwe ndissa ekitala kyange mu mukono gwa kabaka w'e Babiloni, n'akigalulira ku Misiri, olwo balimanya nti nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni, naye emikono gya Falaawo giriremala, balyoke bamanye nga nze Mukama. Nditeeka ekitala mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, n’akigololera ku nsi y’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndinyweza emikono gya kabaka w'e Babbulooni, n'emikono gya Falaawo girinafuwa. Kale balimanya nga nze Mukama, bwe nditeeka ekitala kyange mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, naye alikigololera ku nsi y'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndiwa amaanyi emikono gya Kabaka wa Babilooniya, naye emikono gya kabaka wa Misiri girinafuwa ne gikka. Bwe nditeeka ekitala kyange mu ngalo za kabaka wa Babilooniya n'akyolekeza ensi y'e Misiri, olwo balimanya nga Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndisitula emikono gya kabaka w'e Babulooni, n'emikono gya Falaawo girikka; kale balimanya nga nze Mukama, bwe nditeeka ekitala kyange mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, naye alikigololera ku nsi y'e Misiri.