Ezekiel 30:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga olunaku luli kumpi, olunaku lw'Omukama lusembedde; olunaku olwa kalenge; akadde akakeereredde amawanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga olunaku luli kumpi, olunaku lwa Mukama luli kumpi, olunaku olw’ebire eri bannaggwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga olunaku luli kumpi, olunaku lwa Mukama luli okumpi, olunaku olw'ebire; kiseera ekya kazigizigi eri amawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku olwo luli kumpi, olunaku Mukama lw'alikolerako eby'amaanyi. Luliba lunaku lwa bire, olunaku amawanga kwe galibonererezebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga olunaku luli kumpi, olunaku lwa Mukama lwe luli okumpi, olunaku olw'ebire; kiriba kiseera kya bannaggwanga.