Ezekiel 30:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitala kirijjira Misiri, n'ennaku eriba mu Kuusi, abattiddwa lwe baligwa mu Misiri, obugagga bwe ne butwalibwa, n'emisingi gye ne gimenyebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitala kirirumba Misiri, n’ennaku eribeera mu Buwesiyopya. Bwe balifiira mu Misiri, obugagga bwe bulitwalibwa n’emisingi gyayo girimenyebwa.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitala kirijja ku Misiri, n'obubalagaze buliba mu Buwesiyopya, abo abattiddwa bwe baligwa mu Misiri; obugagga bwe bulitwalibwa, n'emisingi gyayo girimenyekera ddala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Walibaawo olutalo mu Misiri n'obulumi buligwira Kuusi. Bangi balittibwa mu Misiri, obugagga bwayo ne bunyagibwa; n'emisingi gyayo girimenyebwawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ekitala kiririnnya ku Misiri, n'obubalagaze buliba Buwesiyopya, abo abattiddwa bwe baligwa mu Misiri; era baliggyawo olufulube lw'abantu baamu, n'emisingi gyayo girimenyekera ddala.