Ezekiel 30:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kuusi, Puti, Ludi, Arabiya yenna, Kubu n'abantu b'ensi ey'endagaano balifa ekitala wamu nabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obuwesiyopya, ne Puuti, ne Luudi ne Buwalabu yonna, ne Kubu n’abantu bonna ab’ensi ey’endagaano balittibwa ekitala awamu ne Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Obuwesiyopya, ne Puti, ne Ludi, ne Buwalabu yonna, ne Kubu, n'abantu bonna ab'ensi ez'endagaano, balittibwa ne kitala wamu nabo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'e Kuusi ne Puuti ne Luudi Abawarabu n'Abalibiya, n'ab'ensi zonna ez'omukago, balifiira mu lutalo olwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obuwesiyopya, ne Puti, ne Ludi, n'abantu bonna abaatabulwa, ne Kubu, n'abaana bonna ab'ensi eragaanye, baligwa wamu nabo n'ekitala.