Ezekiel 30:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Abawagira Misiri baligwa; n'okwewanika kw'amaanyi ge kulifeeba. Okuva e Migudoli okutuuka e Siyene battibwa n'ekitala mu makkati go, Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “ ‘Abawagira Misiri baligwa, n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwa. Okuva ku mulongooti ogw’e Sevene baligwa n’ekitala, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama: Abo abawagira Misiri baligwa, n'amalala ge galimuggwamu; okuva ku kigo eky'e Sevene baligwa omwo n'ekitala, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Abo abawanirira Misiri baligwa, amaanyi agagireetera okwekuza galimenyebwawo, n'abantu baayo balittirwa mu lutalo, okuva e Migidooli okutuuka e Siyeene. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Era n'abo abakwatirira Misiri baligwa, n'amalala ag'obuyinza bwayo galikankana: okuva ku kigo eky'e Sevene baligwa omwo n'ekitala, bw'ayogera Mukama.