Ezekiel 30:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baliba matongo mu mawanga agafuuse amatongo, n'ebibuga byabwe ebizikiridde biriba mu bibuga ebyazikirizibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balirekebwawo wakati mu nsi endala ezalekebwawo, n’ebibuga byabwe biribeera ebimu ku ebyo ebyasaanawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era baliba nga balekeddwawo wakati mu nsi ezaalekebwawo, n'ebibuga byayo biriba wakati mu bibuga ebyazisibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Erifuuka amatongo, n'okusinga ensi endala zonna ezaali zifuuse amatongo, n'ebibuga byayo birizika n'okusinga ebibuga ebirala byonna ebyali bizisiddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era baliba nga balekeddwawo wakati mu nsi ezaalekebwawo, n'ebibuga byayo biriba wakati mu bibuga ebyazisibwa.