Ezekiel 30:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo balimanya nti nze Mukama, bwe nditeekera Misiri omuliro; na bonna abamuyamba nga babetenteddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo balimanya nga nze Mukama bwe ndikuma ku Misiri omuliro, n’ababeezi baayo bonna balibetentebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okukuma omuliro ku Misiri, n'ababeezi baayo bonna nga babetenteddwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ndimala okukuma omuliro mu Misiri abagiyambako bonna ne bafa, olwo balimanya nga Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okukuma omuliro mu Misiri, n'ababeezi baayo bonna nga bazikiridde: