Ezekiel 31:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Kale nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Kubanga gwalangajja, obusanso bwagwo ne buba eyo mu bire, ne gwewanika olw'obulangavvu bwago,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘ Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti; Kubanga gwegulumiza, ne gwewanika waggulu okuyita mu kasolya ak’ekibira, ate ne guba n’amalala olw’obuwanvu bwagwo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Kubanga gwe gulumizizza ne guwanvuwa okutuuka mu bire, ate ne guba n'amalala olw'obuwanvu bwagwo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale Nze Mukama Afugabyonna, kyenva ŋŋamba nti omuti ogwo nga bwe guwanvuye ne gugulumira, obusanso bwagwo ne butuuka ne mu bire, ate ne gwekuluntaza olw'obuwanvu bwagwo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyeyava ayogera bw'ati nti Kubanga ogulumizibwa obuwanvu, era atadde obusongezo bwe mu matabi amaziyivu, n'omutima gwe gusituliddwa olw'obugulumivu bwe;