Ezekiel 31:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nzija kuguwaayo mu mikono gy'ow'obuyinza afuga amawanga, aguyise nga bwe gusaanira olw'obugwenyufu bwagwo. Ngumansudde eri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kyendiva nguwaayo mu mukono gw’omufuzi ow’amawanga agukole ng’obutali butuukirivu bwagwo bwe buli, era ngugobye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kyendiva nguwaayo mu mukono gw'ow'amaanyi afuga amawanga, agubonereze ng'obutali butuukirivu bwagwo bwe buli, era ngugobye olw'obubi bwagwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nze nguvuddemu, era ndiguwaayo mu mikono gy'ow'amaanyi, agubonereze olw'ebibi byagwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okuwa ndimuwaayo mu mukono gw'ow'amaanyi ku mawanga; talirema kumubonereza: mmugobye olw'obubi bwe.