Ezekiel 31:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abagwira abasinga obukambwe mu mawanga baligutema ne baguleka eyo. Amatabi gaagwo galigwa ku lusozi ne mu biwonvu yonna; obusanso bwagwo bulimenyekeramenyekera mu nkonko zonna ez'ensi. Abantu bonna ab'oku nsi baliva mu kisiikirize kyagwo ne baguleka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bannaggwanga abasingirayo ddala obukambwe baagutema ne bagusuula. Amatabi gaagwo amanene gaagwa ku nsozi ne mu biwonvu byonna, n’amatabi gaagwo amatono ne gagwa nga gamenyese mu biwonvu byonna eby’ensi. N’amawanga gonna ag’oku nsi gaava wansi w’ekisiikirize kyagwo, ne gagulekawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bannamawanga ab'entiisa ab'omu mawanga, baguteme, baguleke awo. Amatabi gaagwo gagwe ku nsozi ne mu biwonvu byonna, n'obutabi bwagwo bugwe mu biwonvu byonna eby'ensi, n'amawanga ag'omu nsi gave wansi we kisiikirize kyagwo, gusigale awo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abagwira abakambwe baligutema ne baguleka awo. Amatabi gaagwo galigwa ku nsozi ne mu biwonvu. Obutabi bwagwo bulimenyekera mu myala gyonna egy'amazzi mu nsi eyo. N'ab'amawanga gonna agaali geewogoma mu kisiikirize kyagwo, baliguleka awo ne bagenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bannaggwanga, ab'entiisa ab'omu mawanga, bamumazeewo, bamuleseewo: amatabi ge gagudde ku nsozi ne mu biwonvu byonna, n'ensibuka ze zimenyekedde ku nsalosalo zonna ez'omu nsi; n'amawanga ag'omu nsi gasse okuva mu kisiikirize kye, era bamuleseewo.