Ezekiel 31:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebinyonyi byonna eby'eggulu birigusulako gye gugaŋŋalamye, n'ebisolo eby'ettale byonna birisula mu matabi gaagwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga ne bituula ku matabi agaagwa, era n’ensolo enkambwe ez’oku ttale zonna ne zibeera mu matabi gaagwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennyonyi zonna ez'omu bbanga zirituula ku gwo nga guli awo wansi, n'ensolo zonna ez'omu nsiko ziribeera ku matabi mu matabi gaagwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebinyonyi byonna ebibuuka mu bbanga birijja ne bibeera ku muti ogwo nga gugudde, n'ensolo zonna ez'omu ttale ziririnnyirira amatabi gaagwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennyonyi zonna ez'omu bbanga zirituula ku bibye ebyagwa, n'ensolo zonna ez'omu nsiko ziribeera ku matabi ge: