Ezekiel 31:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Tewali muti gwa ku mazzi guliguvuganya mu bulangavvu, nagwo obusanso bwagwo ne buba eyo mu bire. Teri muti gufukirirwa mazzi guliwanvuwa kutuusa awo, kubanga emiti gyonna gya kufa, gya kukkirira wansi mu ttaka mu baana b'abantu, wamu n'abo abakkirira mu bunnya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyewaliva walema okubaawo emiti okumpi n’amazzi egirikula ne giwanvuwa ne gyegulumiza n’okutuuka okuyita mu kasolya k’ekibira. Era tewalibaawo miti mirala egyafukirirwa obulungi egiriwanvuwa okutuuka awo, kubanga gyonna giweereddwayo eri okufa, okugenda emagombe, mu bantu abaabulijjo, n’abo abakka mu bunnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyewaliva walema okubaawo omuti gwonna oguli ku mabbali g'amazzi, oguliwanvuwa oba okwegulumiza okutuuka mu bire. Era tewaliba miti mirala eginywa amazzi, egiriwanvuwa okutuuka awo. Kubanga gyonna giweereddwayo eri okufa, eri enjuyi ez'ensi eza wansi, wakati mu baana b'abantu, wamu n'abo abakka mu bunnya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo kiriba bwe kityo, waleme kubaawo ku miti gyonna egikulira ku mabbali g'amazzi, oba ne bwe ginywa gitya amazzi ne giba gya maanyi, egiryekuluntaza olw'obugulumivu bwagyo, oba olw'okutuusa obusanso bwagyo mu bire. Naye gyonna ginaabanga gya kufa ng'abantu, ginaabanga gya kwegatta ku abo abakka emagombe mu bunnya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
waleme okubaawo ku miti gyonna egiri ku mabbali g'amazzi n'ogumu ogulyegulumiza olw'obuwanvu bwagyo, era gireme okuteeka obusongezo bwagyo mu matabi amaziyivu, n'egyagyo egy'amaanyi gireme okuyimirira mu bugulumivu bwagyo, gyonna eginywa amazzi: kubanga gyonna giweereddwayo eri okufa, eri enjuyi ez'ensi eza wansi, wakati mu baana b'abantu, wamu n'abo abakka mu bunnya.