Ezekiel 31:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Ku lunaku lwe gulikkirira emagombe, eddubi ndiribikka n'okukungubaga, ne nziyiza emigga gyalyo, ne ntangira amazzi gaalyo amangi; olw'okubeera gwo Lebanoni ndimubikka ekizikiza, n'emiti gy'omu ttale gyonna giriwotoka olw'okubeera gwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku lwe gwaleetebwa wansi emagombe, enzizi zaagukaabira, era naziyiza n’emigga gyagwo, n’amazzi gaagwo amangi okukulukuta. Ku lulwe nayambaza Lebanooni obuyinike, n’emiti gyonna egy’oku ttale ne gikala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku lwe gulikka wansi mu magombe, ndireka obunnya okugukungubagira, ndiziyiza emigga gyagwo, n'amazzi gaagwo amangi okukulukuta. Ndyambaza Lebanooni obuyinike ku lwagwo, n'emiti gyonna egy'omu ttale giriyongobera ku lwagwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ku lunaku lwe gulikkirako emagombe, ndireka amazzi ag'omu buziba bw'ennyanja okugukungubagira. Ndiyimiriza emigga ne sireka ngezi yaagyo kukulukuta. Olw'okufa kwagwo, ndireeta ekikome ku nsozi z'omu Lebanooni, n'emiti ne ngireetera okuwotookerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku lwe yakka mu magombe, naleeta ekiwuubaalo: namubikkira ku nnyanja, ne nziyiza emigga gyayo, n'amazzi amangi ne gayimirizibwa: ne mpuubaaza Lebanooni ku lulwe, emiti gyonna egy'omu ttale ne giyongobera ku lulwe.