Ezekiel 31:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amawanga ndigaleetera okuyuuguuma olw'omusinde gw'okugwa kwagwo, bwe ndiguserengesa emagombe wamu n'abo abagenda mu bunnya. Awo emiti gyonna egy'e Edeni, emirondobe era egisinga obulungi ku Lebanoni, gyonna amazzi gye gafukirira, girikubagizibwa mu nsi wansi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naleetera amawanga okukankana olw’eddoboozi ery’okugwa kwagwo bwe naguserengesa emagombe n’abo abaserengeta wansi mu bunnya. Olwo emiti gyonna egya Adeni, egy’amaanyi era egisingayo obulungi egya Lebanooni emiti gyonna egyali gifukiriddwa obulungi amazzi, ne gizzibwamu amaanyi wansi mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndikankanya amawanga olw'eddoboozi ery'okugwa kwagwo bwe nnaguserengesa emagombe wamu n'abo abakka mu bunnya. Olwo emiti gyonna egy'omu Edeni, emironde egya Lebanooni egisinga obulungi, gyonna eginywa amazzi, girisanyusibwa wansi mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ndigusuula emagombe awamu n'abo abakka mu bunnya, okuvuga kw'okugwa kwagwo kulikankanya amawanga. Emiti gyonna mu Edeni, n'emirondobe egy'omu Lebanooni egisinga obulungi era gyonna egyanywa amazzi, egyakkirira wansi mu ttaka, girisanyuka nga gugudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nakankanya amawanga olw'eddoboozi ery'okugwa kwe, bwe nnamusuula mu magombe wamu n'abo abakka mu bunnya: emiti gyonna egy'omu Adeni, emironde egya Lebanooni egisinga obulungi, gyonna eginywa amazzi, ne gisanyusibwa mu njuyi ez'ensi eza wansi.