Ezekiel 31:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era abalikkirira nagwo emagombe eri abattibwa ekitala be bo abaatuulanga mu kisiikirize kyagwo, banywanyi be mu mawanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo bonna ababeera mu kisiikirize kyagwo, n’amawanga agassanga ekimu nabo, bakirira nabo emagombe ne beegatta ku abo abattibwa n’ekitala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nagyo girikka nagwo emagombe awali abo abattibwa n'ekitala, abaguyambanga era abaatuulanga wansi w'ekisiikirize kyagwo wakati mu mawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Girikka nagwo emagombe awali abo abattirwa mu ntalo, abo ab'amawanga abaaguyambanga, era abaabeeranga mu kisiikirize kyagwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nagyo ne gikka mu magombe wamu naye eri abo abattibwa n'ekitala; weewaawo, abo abaabanga omukono gwe, abaatuulanga wansi w'ekisiikirize kye wakati mu mawanga.