Ezekiel 31:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Muti ki ogw'omu Edeni oguyinza okukwefaanaanyiriza mu kitiibwa ne mu bukulu? Naye naawe olisuulibwa mu nnyanga y'ensi wamu n'emiti gy'omu Edeni; oligalamira wamu n'abatali batayirire, olyebaka mu abo abattibwa n'ekitala. Oyo ye Faraawo n'ebbiina lye lyonna, Omukama Katonda y'agamba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Muti ki mu gy’omu Adeni ogw’enkana naawe mu bukulu mu kitiibwa kyo? Era naye, olisuulibwa wamu n’emiti egy’omu Adeni n’oserengeta emagombe, n’ogalamira eyo wamu n’abatali bakomole, n’abo abattibwa n’ekitala. “ ‘Ono ye Falaawo n’ekibinja kye kyonna, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ofaanana muti ki ekitiibwa n'obukulu mu miti gyonna egy'omu Edeni? Era naye olissibwa wamu n'emiti egy'omu Edeni mu njuyi ez'ensi eza wansi: oligalamira wakati mu batali bakomole, wamu n'abo abattibwa n'ekitala. Oyo ye Falaawo n'abantu be bonna abangi, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Muti ki mu egyo egy'omu Edeni ogwali gugwenkana ekitiibwa n'amaanyi? Kyokka naawe olikka emagombe wamu n'emiti gy'omu Edeni, obeere mu abo abatali bakomole, wamu n'abo abattirwa mu ntalo. Omuti ogwo ye Kabaka wa Misiri n'abantu be bonna.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ofaanana ani bw'otyo ekitiibwa n'obukulu mu miti egy'omu Adeni? era naye olissibwa wamu n'emiti egy'omu Adeni mu njuyi ez'ensi eza wansi: oligalamira wakati mu batali bakomole, wamu n'abo abattibwa n'ekitala. Oyo ye Falaawo n'olufulube lw'abantu be bonna, bw'ayogera Mukama Katonda.