Ezekiel 31:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, gamba Faraawo kabaka w'e Misiri n'ebbiina lye nti: “ ‘Weefaanaanyirizibwe ku ani mu bukulu bwo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, tegeeza Falaawo, ye kabaka w’e Misiri n’olufulube lw’abantu be nti, “ ‘Ani ayinza okwegeraageranya naawe mu kitiibwa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana w'omuntu, gamba Falaawo kabaka w'e Misiri wamu n'abantu be bonna nti, Ofaanana ani mu bukulu bwo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, gamba Kabaka wa Misiri n'abantu be bonna nti: ‘Nnaakugeraageranya ku ani nno? Ng'oli wa buyinza, era wakitiibwa nnyo!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, gamba Falaawo kabaka w'e Misiri n'olufulube lw'abantu be nti Ofaanana ani mu bukulu bwo?