Ezekiel 31:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kukugeranya ku muti gw'entolookyo y'omu Lebanoni, ogw'amatabi amalungi, oguggumizza, omulangavvu, obusanso bwagwo buli eyo mu bire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tunuulira Obwasuli, ogwali omuvule mu Lebanooni, nga gulina amatabi amalungi agaasiikirizanga ekibira; ogwali omuwanvu ennyo, nga guyitamu ne mu kasolya ak’ekibira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Laba, ŋŋenda kukufaanaganya n'omuvule mu Lebanooni, ogw'amatabi amalungi, era agakola ekisiikirize mu kibira, era omuwanvu; n'obusongezo bwagwo nga bukutte mu bire.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkugeraageranya ne Assiriya, eyali ng'omuvule ku Lusozi Lebanooni ogw'amatabi amalungi, agawa ekisiikirize; omuwanvu, ng'obusongezo bwago butuuka ne mu bire.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, Omwasuli yali muvule ku Lebanooni ogw'amatabi amalungi, era ogw'ekisaanikira eky'ekisiikirize, era muwanvu; n'obusongezo bwe bwali mu matabi amaziyivu.