Ezekiel 31:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amazzi gaaguliikiriza, eddubi lyagufuula mulangavvu, emyala gyalyo gyakulukutanga wonna mu mirandira gyagwo, ne lisindika obugga bwalyo eri emiti gyonna egy'omu ttale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amazzi gaaguliisanga, n’enzizi ezikka wansi ennyo ne ziguwanvuya, n’emigga gyagyo ne gigwetooloola wonna, ne giweerezanga n’amatabi gaagyo eri emiti gyonna egy’omu ttale.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amazzi gaaguliisanga, n'amazzi ag'ebuziba ne gaguwanvuya nnyo. Emigga gyagwo ne gikulukuta, okwetooloola olusuku mwe gwasimbibwa, Ne giweereza amatabi gaagyo eri emiti gyonna egy'omu kibira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo amazzi kwe gwanywanga, ensulo z'amazzi agaagukuza. Zaakulukutanga okwetooloola ekifo mwe gwasimbwa, era zaatuukanga ne ku miti emirala egy'omu kibira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amazzi gaamuliisanga; ennyanja yamukuza: emigga gye gyakulukuta okwetooloola olusuku lwe; era yatuusa ensalosalo ze eri emiti gyonna egy'omu ttale.