Ezekiel 31:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyegwava guwanvuwa okukira emiti gyonna egy'omu ttale, amatabi gaagwo ne geeyongera obungi n'obutabi gwagwo ne buwanvuwa, ne gwagaagala olw'amazzi obungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyegwava gukula ne guwanvuwa okusinga emiti gyonna egy’omu kibira, n’amatabi gaagwo amanene ne geeyongera obunene, n’amatabi gaagwo amatono ne gawanvuwa ne gasaasaana olw’obungi bw’amazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne gulyoka guwanvuwa nnyo negusinga emiti gyonna egy'omu kibira, amatabi gaagwo negeyongera okugejja n'obutabi bwagwo ne buwanvuwa, olw'amazzi amangi gwe galina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'okuba gwafunanga bulungi amazzi, gwawanvuwa ne gugulumira okusinga emiti emirala gyonna egy'omu ttale. Amatabi gaagwo ne gaala, ne gagejja, ne gaagaagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obuwanvu bwe kyebwava bugulumizibwa okusinga emiti gyonna egy'omu ttale; n'amatabi ge ne gaala, ensibuka ze n'ezaala, amatabi ge ne gawanvuwa olw'amazzi amangi, bwe yagasuula.