Ezekiel 31:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebinyonyi byonna eby'omu bbanga ne bizimba ebisu mu matabi gaagwo, ensolo zonna ez'ettale ne zizaalira wansi w'amatabi gaagwo, n'amawanga mangi ne gasula mu kisiikirize kyagwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga ne bizimba ebisu byazo mu matabi gaagwo amanene, n’ensolo enkambwe ez’oku ttale ne zizaaliranga wansi w’amatabi gaagwo, n’amawanga gonna amakulu ne gabeeranga wansi w’ekisiikirize kyagwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennyonyi zonna ez'omu bbanga ne zizimba ebisu byazo ku matabi gaagwo, n'ensolo zonna ez'omu nsiko ne zizaalira abaana baazo wansi w'amatabi gaagwo, n'amawanga gonna amakulu ne gabeera wansi w'ekisiikirize kyagwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebinyonyi byonna ebibuuka mu bbanga ne bizimba omwo ebisu byabyo, n'ensolo zonna ez'omu ttale ne zizaaliranga abaana baazo wansi w'amatabi gaagwo. Amawanga gonna amakulu ne geewogomanga mu kisiikirize kyagwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennyonyi zonna ez'omu bbanga ne zizimba ebisu byazo mu matabi ge, n'ensolo zonna ez'omu nsiko ne zizaalira abaana baazo wansi w'amatabi ge, n'amawanga gonna amakulu ne gabeera wansi w'ekisiikirize kye.