Ezekiel 31:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gwali magero mu bunene bwagwo n'obwagaagavu bw'amatabi gaagwo, kubanga emirandira gyagwo gyakka mu mazzi amangi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gwali gwa kitalo mu bulungi bwagwo, n’amatabi gaagwo amanene, kubanga emirandira gyagwo gyasima awali amazzi amangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gwali mulungi mu kitiibwa kyagwo, olw'obuwanvu bwa matabi gaagwo: kubanga emirandira gyagwo gyakka wala awali amazzi amangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuti ogwo gwali mulungi, era nga gwa maanyi. Gwalina amatabi amawanvu kubanga emirandira gyagwo gyatuukanga awali amazzi amangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo n'aba mulungi mu bukulu bwe, olw'okuwanvuwa kw'amatabi ge: kubanga emmizi gye gyali awali amazzi amangi.