Ezekiel 31:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Entolookyo mu nnimiro ya Katonda tezaagutuuka, n'emiti gya faraawo tegyagwenkanya matabi, n'egy'arumoni nga tegigwenkana mu buggumivu. Tewaali muti mu nnimiro ya Katonda ogwali gugwenkana mu bulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emivule egyali mu nnimiro ya Katonda tegyayinza kuguvuganya, newaakubadde emiberoosi okwenkana n’amatabi gaagwo amanene; n’emyalamooni nga tegifaanana matabi gaagwo amatono, so nga tewali muti mu nnimiro ya Katonda ogugwenkana mu bulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emivule egy'omu lusuku lwa Katonda tegyayinza kuguvuganya, newakubadde emiberoosi okwenkana matabi gaagwo, n'emyalamooni nga tegiyinza kugerageranyizibwa n'amatabi gaagwo; tewali muti mu lusuku lwa Katonda ogugwenkana mu bulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emivule mu nnimiro ya Katonda gyali tegiyinza kuvuganya nagwo. Emiberosi tegyalina matabi genkana gaagwo. Emiti emirala gyali tegyenkana wadde amatabi gaagwo. Tewali muti mu nnimiro ya Katonda ogwali omulungi ng'ogwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emivule egy'omu lusuku lwa Katonda tegyayinza kumukweka: emiberoosi nga tegyenkana matabi ge, n'emyalamooni nga tegifaanana nsibuka ze: so nga tewali muti mu lusuku lwa Katonda ogumwenkana obulungi bwe.