Ezekiel 31:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nagukola nga mulungi: n'amatabi amaggumivu; emiti gyonna egy'omu Edeni, egyali mu nnimiro ya Katonda, ne gigukwatirwa obuggya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nagulungiya n’amatabi amangi, emiti gyonna egy’omu Adeni egyali mu nnimiro ya Katonda ne gigukwatirwa obuggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nagulungiya mu matabi gaagwo amangi, ne miti gyonna egy'omu Edeni egyali mu lusuku lwa Katonda n'okukwatibwa ne gigukwatirwa obuggya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nagufuula mulungi ogwagaagala amatabi, n'emirala gyonna mu Edeni, ennimiro ya Katonda ne gigwegombanga.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amufuula mulungi olw'olufulube lw'amatabi ge: emiti gyonna egy'omu Adeni egyali mu lusuku lwa Katonda n'okukwatibwa ne gimukwatirwa obuggya.