Ezekiel 32:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndireetera abantu bangi okuwuniikirira ku ggwe, ne bakabaka baabwe ne beekanga; balikankana ne batya olw'ekikutuuseeko, bwe ndigalula ekitala kyange mu maaso gaabwe; ku olwo lw'olizikirira, buli omu alijugumira buli kaseera ng'atiiririra obulamu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawanga mangi galijjula entiisa era bakabaka baabwe balisasamala, ng’obagalulira ekitala mu maaso gaabwe. Ku lunaku olw’okugwa kwo, buli omu ku bo alikankana, era buli muntu aligezaako okuwonya obulamu bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bangi balisamalirira ku lulwo, ne bakabaka baabwe balitya nnyo, ne bakankana ku lulwo, bwe ndigalula ekitala kyange mu maaso gaabwe; era balikankana buli kaseera, buli muntu ng'akankanira obulamu bwe ye, ku lunaku olw'okugwa kwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kye nkutuusizzaako, kirisamaaliriza amawanga mangi, ne bakabaka baago balikankana olw'okutya, bwe ndigalula ekitala kyange mu maaso gaabwe. Ku lunaku lw'oligwirako, abantu bonna balikankana, olw'okutiiririra obulamu bwabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, ndikusamaaliririza amawanga mangi, ne bakabaka baabwe balitya nnyo nnyini ku lulwo, bwe ndigalula ekitala kyange mu maaso gaabwe; era balikankana buli kaseera, buli muntu ng'akankanira obulamu bwe ye, ku lunaku olw'okugwa kwo.