Ezekiel 32:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebbiina lyo lyonna nzija kulimalawo n'ebitala by'abatabaazi ab'amaanyi, abo abasinga obukambwe mu mawanga gonna. “ ‘Balimenya amampaati ga Misiri, ne nnasiisi w'abantu be bonna alisaanyizibwawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nditta enkuyanja y’abantu bo n’ekitala eky’abasajja abalwanyi abazira, abasingirayo ddala obukambwe mu mawanga gonna. Balimalawo amalala ga Misiri, n’enkuyanja y’abantu be bonna balizikirizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bo bangi ebitala eby'ab'amaanyi biri batta, abantu ab'entiisa mu mawanga.” “Balimalawo amalala ga Misiri, abantu be bonna balizikirizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndireka abaserikale ab'amaanyi ab'omu mawanga agasingayo obukambwe, ne batta abantu bo bonna. Abantu bo n'ebintu byo ebikweyagaza, balibizikiriza byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndigwisa olufulube lwo n'ebitala eby'ab'amaanyi; bonna ba ntiisa ba mu mawanga: era balinyaga amalala ga Misiri, n'olufulube lwayo lwonna lulizikirizibwa.