Ezekiel 32:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndizikiriza amagana ge gonna okuva ku mazzi amangi; ekigere ky'omuntu tekiriddayo kugasiikuula, yadde ekiganja ky'ensolo okugasambattula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndizikiriza amagana ge gonna ag’ente okuva awali amazzi amangi, era tewaliba n’omu alirinnyayo okubatabangula newaakubadde ente okulinnyirirayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndizikiriza ensolo zaayo zonna okuva awali amazzi amangi; era tewaliba kigere kya muntu kirigatabangula nate, wadde ebinuulo eby'ensolo okugatabangula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndizikiriza ensolo zo zonna buli awali amazzi amangi. Tewaliba kigere kya bantu wadde ebinuulo by'ensolo ebiriddamu okugatabangula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndizikiriza ensolo zaayo zonna okuva awali amazzi amangi; so n'ekigere ky'abantu tekirigatabangula nate, so n'ebinuulo eby'ensolo tebirigatabangula.