Ezekiel 32:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo amazzi gaabwe ndigateesa, emigga gyabwe ne gikulukuta ng'omuzigo, Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma nditeesa amazzi ge, n’enzizi ze ne nzifuula ng’amafuta, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ndirongoosa amazzi gaabwe, ne nkulukusa emigga gyabwe ng'amafuta, bw'ayogera Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndireka amazzi gaabwe ne gateeka emigga gyabwe ne gikulukutiramu amazzi amayonjo. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale ne ndyoka ntangaaliza amazzi gaabwe, ne nkulukusa emigga gyabwe ng'amafuta, bw'ayogera Mukama Katonda.