Ezekiel 32:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi y'e Misiri bwe ndimala okugifuula eddungu, ebirimu byonna nga bimaliddwamu, bwe ndikuba bonna abasulamu, olwo balimanya nti nze Mukama.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ndizisa ensi ey’e Misiri, ne ngiggyamu buli kantu akalimu, ne nzita bonna ababeeramu, balimanya nga nze Mukama.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe ndirekawo ensi y'e Misiri ne ngizisa, ne ngiggyamu buli kintu ekyagirimu, ne nzita bonna abalimu, kale ne balyoka bamanya nga nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ndifuula Misiri amatongo agazise, ne nzikiriza bonna abagirimu, olwo balimanya nga Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe ndirekesaawo ensi y'e Misiri ne ngizisa, ensi eteriimu ebyo bye yajjulanga, bwe ndifumita abo bonna abalimu, kale ne balyoka bamanya nga nze Mukama.