Ezekiel 32:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Olwo lwe luyimba lw'okukungubaga lwe balimuyimbira; bawala b'amawanga balimukungubagira; balikungubagira Misiri n'ebbiina lye lyonna, Omukama Katonda y'agamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Weewaawo kuno kwe kukungubaga kwe balikungubaga. Abawala bannaggwanga balikungubagira Misiri n’enkuyanja y’abantu be bonna,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuno kwe kukungubaga kwe balikungubaga; abawala ab'amawanga balikungubaga bwe batyo; balikungubagira Misiri n'abantu baamu bonna bwe batyo, bw'ayogera Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Luno lwe luyimba lwe baliyimba okukungubaga. Abakazi mu mawanga banaaluyimbanga okukungubagira Misiri, n'abantu baayo bonna. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuno kwe kukungubaga kwe balikungubaga; abawala ab'amawanga balikungubaga bwe batyo: balikungubagira Misiri n'olufulube lwamu lwonna bwe batyo, bw'ayogera Mukama Katonda.