Ezekiel 32:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, kungubagira ebbiina lya Misiri, ye ne bawala b'amawanga ag'amaanyi, obakkirize eyo mu nnyanga y'ensi wamu n'abo abakkirira mu bunnya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, kaabirako ku nkuyanja y’abantu b’e Misiri, obasindike emagombe ye n’abawala bannaggwanga abaayatiikirira, n’abo abakka mu bunnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana w'omuntu, kubira ebiwoobe abantu bonna ab'e Misiri, obasuule wansi, ye n'abawala ab'amawanga agaayatiikirira, mu njuyi ez'ensi eza wansi, wamu n'abo abakka mu bunnya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, kungubagira nnamungi w'abantu b'e Misiri n'ab'ensi endala ez'amaanyi, obasuule emagombe wamu n'abo abakka mu bunnya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, kubira ebiwoobe olufulube lwa Misiri, obasuule wansi, ye n'abawala ab'amawanga agaayatiikirira, mu njuyi ez'ensi eza wansi, wamu n'abo abakka mu bunnya.