Ezekiel 32:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, yimba oluyimba olukungubagira Faraawo kabaka w'e Misiri, omugambe nti: “ ‘Oli ng'empologoma mu mawanga; oli ssessota mu nnyanja, ng'ofubutukayo mu migga, ng'osambattula amazzi n'ebigere byo, emigga n'ogisiikuula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, tandika okukungubagira Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, omutegeeze nti: “ ‘Oli ng’empologoma mu mawanga, ng’ogusota wakati mu nnyanja, ng’owaguza mu migga gyo, era ng’otabangula amazzi, n’osiikuula n’emigga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana w'omuntu, tandika okukungubagira Falaawo kabaka w'e Misiri omugambe nti,” “Weetwala ng'empologoma mu mawanga, naye oli ng'ogusota oguli mu nnyanja; ng'owaguza mu migga gyo, n'otabangula amazzi n'ebigere byo, ng'osiikula emigga gyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, tandika okukungubagira kabaka wa Misiri, omugambe nti: ‘Weeyisa ng'empologoma envubuka mu mawanga naye oli ggoonya ali mu nnyanja. Otabangula amazzi n'ebigere byo, n'osiikuula emigga.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, tanula okukungubagira Falaawo kabaka w'e Misiri omugambe nti Wafaananyizibwa empologoma ento ey'omu mawanga: era naye oli ng'ogusota oguli mu nnyanja; n'owaguza wamu n'emigga gyo, n'otabangula amazzi n'ebigere byo, n'oyonoona emigga gyago: