Ezekiel 32:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baligwa wakati mu battiddwa n'ekitala; ekitala kisowoddwa, awalwewalwe n'ebbiina lye lyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baligwa mu abo abattiddwa ekitala, era n’ekitala kisowoddwa, leka atwalibwe n’enkuyanja y’abantu be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Baligwa wakati mu abo abattiddwa n'ekitala, aweereddwayo eri ekitala: muggyeewo n'abantu be bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'e Misiri balifiira wamu n'abo abattirwa mu ntalo, abantu baayo abangi basanjagibwe n'ekitala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baligwa wakati mu abo abattibwa n'ekitala: aweereddwayo eri ekitala: muggyeewo n'olufulube lwe lwonna.