Ezekiel 32:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafuzi ab'amaanyi, banywanyi be, baliyima emagombe ne bamugamba nti: ‘Bakkiridde, bagalamidde, abatali batayirire, abattibwa n'ekitala!’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva emagombe abakulembeze ab’amaanyi balyogera ku Misiri ne be yeekobaana nabo nti, ‘baserengese, era bagalamidde awali abatali bakomole, abattibwa n’ekitala.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'amaanyi ab'obuyinza balyogera naye nga bayima wakati mu magombe wamu n'abo abamuyamba: baserengese, bagalamidde, basirise, abatali bakomole abattibwa n'ekitala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abazira ennyo ab'amaanyi n'abaalwanira ku ludda lwa Misiri, balyaniriza Abamisiri emagombe nga bagamba nti: ‘Abatali bakomole abattirwa mu lutalo, baabano baserengese, basirise, bagalamidde wano.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ab'amaanyi ab'obuyinza balyogera naye nga bayima wakati, mu magombe wamu n'abo abamuyamba: baserengese, bagalamidde, basirise, abatali bakomole abattibwa n'ekitala.