Ezekiel 32:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Entaana zaabwe ziri ku ntobo y'obunnya, eggye lye lyonna lyebunguludde amalaalo ge; abo abaabunya entiisa wonna mu nsi y'abalamu battibwa, baafa ekitala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amalaalo ge gali wansi mu bunnya, n’emirambo gy’eggye lye gyetoolodde amalaalo ge. Abo bonna abaaleeta entiisa mu nsi ey’abalamu battiddwa, bagudde n’ekitala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
amalaalo gaabwe gateekebwa mu njuyi ez'obunnya ezikomererayo, n'ekibiina kye kyetoolodde amalaalo ge, bonna battiddwa, bagudde n'ekitala, abaaleetanga entiisa mu nsi ey'abalamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amalaalo gaabwe gateekeddwa awakomererayo ku ntobo y'emagombe. Abaserikale be baziikiddwa okwetooloola amalaalo ge. Bonna bafudde, battiddwa mu lutalo. Bwe baali bakyali balamu baaleetanga entiisa ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
amalaalo gaabwe gateekebwa mu njuyi ez'obunnya ezikomererayo, n'ekibiina kye kyetoolodde amalaalo ge: bonna batiddwa, bagudde n'ekitala, abaaleetanga entiisa mu nsi ey'abalamu.