Ezekiel 32:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Elamu ali eyo n'ebbiina lye lyonna, beebunguludde amalaalo ge; bonna bano battibwa, baafa kitala. Bonna abaabunya entiisa wonna mu nsi y'abalamu. Bakkirira si batayirire wansi mu ttaka, abo abaabunya entiisa wonna mu nsi y'abalamu. Basonyiwadde wamu n'abo abakkirira mu bunnya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eramu naye ali eyo, n’enkuyanja y’abantu be bonna beetoolodde amalaalo ge. Bonna baafa, battibwa n’ekitala. Bonna abaaleeta entiisa mu nsi ey’abalamu bakka emagombe nga si bakomole, be bagenda wansi mu bunnya nga balina n’ensonyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eramu ali eyo n'abantu be bonna nga beetoolodde amalaalo ge, bonna battiddwa, bagudde n'ekitala, abasse nga si bakomole mu njuyi ez'ensi eza wansi, abaaleetanga entiisa yaabwe mu nsi ey'abalamu, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Elamu ali eyo n'abaserikale be bonna, okwetooloola amalaalo ge. Bonna baafa nga battiddwa mu lutalo. Bakkirira emagombe nga si bakomole. Bwe baali bakyali balamu, baaleetanga entiisa ku nsi, naye kaakano bali mu nsonyi wamu n'abo abakkiridde mu bunnya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eriyo Eramu n'olufulube lwe lwonna nga beetoolodde amalaalo ge: bonna battiddwa, bagudde n'ekitala, abasse nga si bakomole mu njuyi ez'ensi eza wansi, abaaleetanga entiisa yaabwe mu nsi ey'abalamu, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya.