Ezekiel 32:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitanda kimutegekeddwa wakati mu battibwa, n'ebbiina lye lyonna nga beebunguludde amalaalo ge, bonna si batayirire, battibwa n'ekitala, kubanga baabunya entiisa wonna mu nsi y'abalamu, kati basonyiwadde wamu n'abo abakkirira mu bunnya; bateereddwa wakati mu battibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bamwalidde ekitanda wakati mu battibwa n’enkuyanja y’abantu be bonna okwetooloola amalaalo ge. Bonna tebaali bakomole, era battibwa n’ekitala kubanga baatiisatiisanga ensi ey’abalamu. Bajudde ensonyi wamu n’abo abakka emagombe, era bagalamidde wakati mu abo abattiddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bamusimbidde ekitanda wakati mu abo abattiddwa wamu n'abantu be bonna, amalaalo ge gamwetooloodde, bonna si bakomole, abattiddwa n'ekitala; kubanga entiisa yaabwe yaleetebwanga mu nsi ey'abalamu, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya, ateekeddwa wakati mu abo abattiddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elamu bamwalidde ekitanda wakati mu abo abattiddwa; ali wamu n'ababe bonna ng'amalaalo gaabwe gamwetoolodde. Bonna battiddwa mu lutalo nga si bakomole. Bwe baali bakyali balamu, baaleetanga entiisa ku nsi, naye kaakano bali mu nsonyi wamu n'abo abakkiridde mu bunnya. Ateekeddwa wakati mu abo abattiddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bamusimbidde ekitanda wakati mu abo abattiddwa wamu n'olufulube lwe lwonna amalaalo ge gamwetoolodde: bantu si bakomole, abattiddwa n'ekitala kubanga entiisa yaabwe yaleetebwa nga mu nsi ey'abalamu, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya: ateekeddwa wakati mu abo abattiddwa.