Ezekiel 32:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Meseke ne Tubali bali eyo n'ebbiina lye lyonna beebunguludde amalaalo gaabwe; bonna si batayirire, battibwa n'ekitala kubanga baabunya entiisa wonna mu nsi y'abalamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Meseki ne Tubali nabo gye bali n’enkuyanja y’abantu baabwe era beetoolodde amalaalo gaabwe. Bonna tebaali bakomole, era battibwa n’ekitala kubanga baatiisatiisanga ensi ey’abalamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Meseki, Tubali, n'abantu be abangi abali eyo, amalaalo gaabwe gabeetooloodde, bonna abatali bakomole, abattiddwa n'ekitala; kubanga baaleetanga entiisa yaabwe mu nsi ey'abalamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ensi Meseki ne Tubali ziri eyo, nga zeetooloddwa amalaalo g'abaserikale baazo. Bonna abo abatali bakomole battiddwa mu lutalo, naye bwe baali bakyali balamu baaleetanga entiisa ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eriyo Meseki; Tubali, n'olufulube lwe lwonna amalaalo ge gamwetoolodde: bonna abatali bakomole, abattiddwa n'ekitala; kubanga baaleetanga entiisa yaabwe mu nsi ey'abalamu.