Ezekiel 32:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebagalamidde n'abatabaazi ab'edda, abakkirira emagombe n'ebyokulwanyisa byabwe, ebitala byabwe ebyassibwa wansi w'emitwe gyabwe n'engabo zaabwe ezassibwa ku bisigala byabwe, kubanga abatabaazi bano baabunya wonna entiisa mu nsi y'abalamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tebaliziikibwa ng’abakungu, naye baliziikibwa ng’abasajja abalwanyi abazira abatali bakomole, abaaserengeta emagombe n’ebyokulwanyisa byabwe, abaatikkibwa ebitala byabwe ku mitwe gyabwe. Obutali butuukirivu bwabwe bwali ku magumba gaabwe kubanga baaleeta entiisa eri abasajja ab’amaanyi mu nsi ey’abalamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So tebaligalamira wamu n'ab'amaanyi abagudde ku batali bakomole, abasse mu magombe nga balina eby'okulwanyisa byabwe n'ebitala byabwe nga biteekeddwa ku mitwe gyabwe, n'obutali butuukirivu bwabwe buli ku magumba gaabwe; kubanga baabanga ntiisa eri ab'amaanyi mu nsi ey'abalamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tebaaziikibwa wamu na bazira abaafa nga si bakomole, abakkirira emagombe nga balina ebyokulwanyisa byabwe, era ng'ebitala byabwe biteekeddwa emitwetwe waabwe, n'engabo zaabwe nga ziteekeddwa ku magumba gaabwe. Abazira abo baali ba maanyi, nga batiisa abantu ku nsi
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tebaligalamira wamu n'ab'amaanyi abagudde ku batali bakomole, abasse mu magombe nga balina ebyokulwanyisa byabwe n'ebitala byabwe nga biteekeddwa ku mitwe gyabwe, n'obutali butuukirivu bwabwe buli ku magumba gaabwe; kubanga baabanga ntiisa eri ab'amaanyi mu nsi ey'abalamu.