Ezekiel 32:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ne Edomu ali eyo wamu ne bakabaka n'abalangira be bonna; si ka maanyi gaabwe, beebase mu abo abattibwa n'ekitala, era abagalamidde n'abatali batayirire, era wamu n'abo abaaserengeta mu bunnya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Edomu naye ali eyo, bakabaka be n’abalangira be, newaakubadde nga baamaanyi, emirambo gyabwe gigalamidde n’egya bali abattibwa n’ekitala. Bagalamidde n’abatali bakomole mu bunnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Edomu naye ali eyo, bakabaka be n'abakungu be, newakubadde nga ba maanyi, abateekeddwa wamu n'abo abattiddwa n'ekitala. Bagalamidde n'abatali bakomole n'abo abakka mu bunnya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Edomu ali eyo ne bakabaka be n'abakungu be. Baali batabaazi ba maanyi, naye kaakano bali magombe wamu n'abatali bakomole abattirwa mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eriyo Edomu, bakabaka be n'abakungu be, abateekeddwa mu maanyi gaabwe awamu n'abo abattiddwa n'ekitala: baligalamira n'abatali bakomole n'abo abakka mu bunnya.