Ezekiel 32:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukama kino ky'agamba: “ ‘Nzija kukusuulako ekitimba kyange, nga ndi n'ebbiina ly'abantu; balikusika ne bakuleeta mu kiragala kyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “ ‘Ndikusuulako akatimba kange, ne nkusindikira ekibiina ky’abantu ekinene, era balikuvuba n’akatimba kange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ndikusuulako omugonjo gwange n'ekibiina eky'amawanga amangi; era balikuvuba n'omugonjo gwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ab'amawanga amangi bwe balikuŋŋaana, ndikutega ne nkukwasa mu katimba kange. Balikusikayo ne bakuleeta ku lukalu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndikusuulako omugonjo gwange n'ekibiina eky'amawanga amangi; era balikuvuba n'omugonjo gwange.