Ezekiel 32:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abakungu ab'emambuka bonna na bonna Abasidoni bali eyo; bakkirira mu nsonyi, ne battibwa olw'entiisa gye baleeta olw'amaanyi gaabwe. Bagalamidde eyo nga si batayirire wamu n'abattibwa n'ekitala, era basonyiwadde wamu n'abo abaaserengeta mu bunnya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abalangira bonna ab’omu bukiikakkono n’Abasidoni bonna nabo bali eyo; baaziikibwa mu nsonyi n’abattibwa newaakubadde nga baakola eby’entiisa nga be balina obuyinza. Bagalamidde nga si bakomole wamu n’abattibwa n’ekitala, nga balina ensonyi n’abo abakka emagombe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eriyo abalangira bonna ab'obukiikakkono, n'Abasidoni bonna, abasse n'abo abattiddwa; newakubadde nga baaleeta entiisa olw'amaanyi gaabwe, bakwatiddwa ensonyi; era bagalamidde nga si bakomole wamu n'abo abattiddwa n'ekitala, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abakungu b'omu bukiikakkono bonna bali eyo, n'Abasidoni bonna. Baserengeseeyo n'abo abattiddwa. Newaakubadde baatiisanga abantu olw'amaanyi gaabwe, kaakano bali mu nsonyi era bafudde nga si bakomole. Bali wamu n'abo abattibwa mu ntalo. Bali mu nsonyi wamu n'abo abakka mu bunnya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eriyo abalangira ab'obukiika obwa kkono, bonna, n'Abasidoni bonna, abasse n'abo abattiddwa; newakubadde nga baaleeta entiisa olw'amaanyi gaabwe, bakwatiddwa ensonyi; era bagalamidde nga si bakomole wamu n'abo abattiddwa n'ekitala, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya.