Ezekiel 32:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Faraawo alibalaba ne yeekubagiza olw'ebbiina lye lyonna – Faraawo n'eggye lye lyonna, Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era Falaawo, bw’alibalaba, alyekubagiza olw’eggye lye eryattibwa n’ekitala, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo bwalibalaba, alyekubagiza olw'abantu n'asanyusibwa olw'olufulube lwe lwonna: Falaawo n'eggye lye lyonna abattiddwa n'ekitala, bw'ayogera Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kabaka wa Misiri bw'alibalaba, alyerabira ennaku y'abantu be abaafa.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo alibalaba, n'asanyusibwa olw'olufulube lwe lwonna: Falaawo n'eggye lye lyonna abattiddwa n'ekitala, bw'ayogera Mukama Katonda.