Ezekiel 32:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndikukuba ettale ne nkusuula mu kyererezi ku lukalu; ndikusuzaako ebinyonyi eby'omu bbanga, n'ebisolo byonna eby'ensi ku ggwe kwe ndibikkusiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikusuula ku lukalu, ne nkuleka ku ttale, era ebinyonyi byonna eby’omu bbanga birikukkako, n’ensolo enkambwe zonna ez’omu nsi zirikulya ne zikkusibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndikuleka ku lukalu ne nkukasuka ku ttale, ne nkugwisaako ennyonyi zonna ez'omu bbanga, ensolo ez'omu nsi zirikulya ne zibwegera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikusuula ettale ne nkuleka awo ne ndeeta ebinyonyi n'ebisolo eby'oku nsi bikweriire.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndikuleka ku lukalu ne nkusuula ku ttale ebweru, ne nkugwisaako ennyonyi zonna ez'omu bbanga, naawe ndikukkusa ensolo ez'omu nsi zonna bwe zenkana.