Ezekiel 32:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennyama yo nzija kugisuulasuula ku nsozi, ebiwonvu ndibijjuza n'ebisigala byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndisaasaanya ennyama ey’omubiri gwo ku nsozi, era ndijjuza ebiwonvu amagumba go.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndisaasaanya ennyama y'omubiri gwo ku nsozi, ne njijuza ebiwonvu amagumba go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku nsozi, kwe nditeeka ennyama yo, ebiwonvu mbijjuze amagumba go.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nditeeka omubiri gwo ku nsozi ne njijuza ebiwonvu obugulumivu bwo.