Ezekiel 32:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi nzija kugijonjobaza n'omusaayi gwo ogutiiriika, okutuukira ddala ku nsozi, n'enkonko zirikujjula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nditotobaza ensi n’omusaayi gwo okutuukira ddala ku nsozi, era ndijjuza zonna ennyama ey’omubiri gwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nditotobaza ensi okutuukira ddala ne ku nsozi omusaayi gwo nga gukulukuta, n'emikutu gy'amazzi girikujjula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndiyiwa omusaayi gwo mu nsi gwanjaale ku nsozi, era gujjuze emigga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndifukirira ensi gy'owugamu n'omusaayi gwo, okutuuka ne ku nsozi; n'ensalosalo zirikujjula: