Ezekiel 32:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Byonna ebyaka eby'eggulu ndibiddugaza waggulu ku ggwe, ku nsi yo ndireetako enzikiza, Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibikka omusana n’ekire, era n’omwezi tegulireeta kitangaala kyagwo. Ebitangaala byonna eby’omu ggulu, ndibifuula enzikiza; era n’ensi yo yonna ndigireetako enzikiza, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebitangaala byonna eby'omu ggulu ebyakaayakana birikufuukira ekizikiza, ne bireeta ekizikiza ku nsi yo, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyaka byonna eby'oku ggulu ebyakira waggulu wo, ndibizikiriza, ensi yo ngireke mu kizikiza.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ettabaaza zonna ez'omu ggulu ezaakaayakana ndizireetako ekizikiza waggulu wo, ne nteeka ekizikiza ku nsi yo, bw'ayogera Mukama Katonda.